Jeremiah 22:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nzija kukuwaayo mu mikono gy'abo abanoonya obulamu bwo, mu mikono gy'abo b'otya, mu mikono gya Nebukadurezzari, kabaka w'e Babiloni, ne mu mikono gy'Abakaludeya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ndikuwaayo eri abo abanoonya obulamu bwo, abo bootya, Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni era n’eri Abakaludaaya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne nkugabula mu mukono gw'abo abanoonya obulamu bwo, ne mu mukono gw'abo b'otya, mu mukono gwa Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni, ne mu mukono gw'Abakaludaaya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ne nkuwaayo eri ababi b'otya era abaagala okukutta. Ndikuwaayo mu mikono gya Nebukadunezzari kabaka wa Babilooni ne mu gy'abaserikale be.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era ndikugabula mu mukono gw'abo abanoonya obulamu bwo ne mu mukono gw'abo b'otya, mu mukono gwa Nebukadduleeza kabaka w’e Babulooni, ne mu mukono gw'Abakaludaaya.