Jeremiah 22:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ggwe ne nnyoko eyakuzaala ndibakanyuga mu nsi endala gye mutaazaalirwa; eyo mwembi gye mulifiira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndikusuula mu nsi endala gye mutaazaalibwa, ggwe ne maama wo eyakuzaala, era eyo mwembi gye mulifiira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ndikugobera, ggwe ne nnyoko akuzaala, mu nsi endala gye mutaazaalirwa; era mulifiira eyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ggwe ne nnyoko akuzaala ndibagobera mu nsi endala gye mutaazaalibwamu, era mulifiira eyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ndikugobera, ggwe ne nnyoko akuzaala, mu nsi endala gye mutaazaalirwa; era mulifiira eyo.