Jeremiah 22:28 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ono Koniya nsumbi njatifu, egayibwa, ekibya ekitagasa? Lwaki ye n'ezzadde lye baakasukibwa ebweru, ne bakanyugibwa mu nsi gye baali batamanyi?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omusajja ono Koniya kintu ekinyoomebwa, ekimenyese, ekitaliiko ayagala? Lwaki ye n’abaana be balikanyugibwa ebweru, basuulibwe mu nsi gye batamanyi?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omusajja ono Koniya luggyo olwatifu era olunyoomebwa, ekibya ekitalina akifaako? Lwaki ye n'ezzadde lye, bagoberwa era ne basuulibwa mu nsi gye batamanyi?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omusajja ono Koniya afuuse ng'ekibya ekyatifu, ekisuuliddwa ekitaliiko akyagala? Ye n'ezzadde lye kyebavudde bagobebwa ne basindikibwa mu nsi gye batamanyi?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omusajja ono Koniya lugyo lwatifu olunyoomebwa? ono kibya omutali kusanyusa? bagoberwa ki ye n'ezzadde lye, ne bagoberwa mu nsi gye batamanyi?