Jeremiah 22:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama kino ky'agamba: Mukole ebikolwa eby'obutuufu n'obutuukirivu; muwonye gwe banyaze mu mikono gy'amunyigiriza. Omugwira temumuyisanga bubi oba na bukambwe, kye kimu ne ku mulekwa ne nnamwandu; temuyiwanga mu kifo kino musaayi gutaliiko musango.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Musale emisango egy’ensonga, mukole ebituufu. Anyagiddwako ebibye mumuggye mu mukono gw’oyo amujooga. Temukola kibi oba eby’obukambwe eri omugwira, newaakubadde atalina kitaawe, newaakubadde nnamwandu so temuyiwa musaayi gw’abantu abataliiko musango mu kifo kino.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, Musalenga emisango mu bwenkanya, muggyenga omunyago mu mukono gw'omujoozi; so temulyazaamaanyanga, temugiriranga kyejo mugenyi newakubadde atalina kitaawe newakubadde nnamwandu, so temuyiwanga musaayi ogutaliiko musango mu kifo kino.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti mukolenga eby'obwenkanya era ebituufu. Mutaasenga oyo gwe bayiikiriza. Temulyazaamaanyanga bagwira ne bamulekwa, ne bannamwandu, wadde okubanyigirizanga. Era mu kifo kino, temuttanga bantu batalina musango
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Mutuukirizenga emisango n'eby'ensonga, muggyenga omunyago mu mukono gw'omujoozi: so temulyazaamaanyanga, temugiriranga kyejo mugenyi newakubadde atalina kitaawe newakubadde nnamwandu, so temuyiwanga musaayi ogutaliiko musango mu kifo kino.