Jeremiah 22:30 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama kino ky'agamba: “Muwandiike omusajja ono ng'atalizaala ku mwana, omusajja tebirimulamira mu biro bye; kubanga tewali wa musaayi gwe gwe biriramira, tewali alituula ku nnamulondo ya Dawudi, tewali aliddayo n'afuga mu Yuda.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Omusajja ono mumubale ng’atazaalangako kubanga tewali ku baana be alikulaakulana, alituula ku ntebe ya Dawudi oba aliddayo okufuga mu Yuda.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, “Muwandiike omusajja ono nga atalina baana, era omusajja ataliraba mukisa mu biro bye; kubanga tewaliba muntu wa ku zzadde lye aliraba omukisa, era alituula ku nnamulondo ya Dawudi, oba alyeyongera nate okufuga mu Yuda.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mubalire omusajja ono mu batalina baana. Mu bulamu bwe, nga teyafuna mukisa! Mu b'omusaayi gwe tewali alifuga nate Obuyudaaya ng'omusika wa Dawudi. Nze Mukama, Nze nkyogedde.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Muwandiike omusajja ono obutaba na baana, omusajja ataliraba mukisa mu biro bye: kubanga tewaliba muntu wa ku zzadde lye aliraba omukisa ng'atudde ku ntebe ya Dawudi, oba nga yeeongera nate okufuga mu Yuda.