Jeremiah 22:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga singa munaafaayo okutuukiriza ekigambo ekyo, olwo bakabaka abatudde ku nnamulondo ya Dawudi baliyita mu miryango gy'olubiri luno nga bali ku bigaali n'embalaasi, bo, abaweereza baabwe n'abantu baabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga bwe muneegendereza ne mukuuma ebiragiro bino, olwo bakabaka abatuula ku ntebe ya Dawudi baliyita mu miryango gy’olubiri luno nga batudde mu magaali gaabwe n’abo abeebagadde embalaasi nga bawerekerwako n’abakungu baabwe, n’abantu baabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga bwe muligondera ddala ekigambo ekyo, muliyingirira mu miryango egy'ennyumba eno, bassekabaka balituula ku nnamulondo ya Dawudi, nga batambulira mu magaali era nga beebagala embalaasi, ye n'abaddu be n'abantu be.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe mulituukiriza bye mbalagira, olwo bazzukulu ba Dawudi balyongera okuba bakabaka. Bo wamu n'abakungu baabwe, n'abantu baabwe, balyongera okuyitanga mu miryango gy'olubiri luno, nga bali mu magaali era nga beebagadde embalaasi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga bwe mulikolera ddala ekigambo ekyo, kale muliyingirirwa mu miryango egy'ennyumba eno bassekabaka abalituula ku ntebe ya Dawudi, nga batambulira mu magaali era nga beebagala embalaasi, ye n'abaddu be n'abantu be.