Jeremiah 22:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye bwe mutakkirize kuwulira bigambo bino, Omukama y'agamba, neerayidde nzennyini, olubiri luno lulifuuka matongo.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
‘Naye bwe mutaagondere biragiro bino, nneelayirira ku lwange nti olubiri luno lulifuuka matongo,’ bw’ayogera Mukama.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye bwe mutalikkiriza kuwulira bigambo bino, nneerayirira nzekka, bw'ayogera Mukama, ng'ennyumba eno erifuuka matongo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye bwe mutaliwulira kukola bye ndagira, nneerayira nzennyini nti olubiri luno lulifuuka matongo. Nze Mukama, Nze njogedde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye bwe mutalikkiriza kuwulira bigambo bino, neerayira nzekka, bw'ayogera Mukama, ng'ennyumba eno erifuuka matongo.