Jeremiah 22:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Kubanga Omukama kino ky'agamba ku lubiri lwa kabaka wa Yuda: “Wambeerera nga Gileyaadi, ng'entikko ya Lebanoni; kyokka ddala ŋŋenda kukufuula ddungu, ng'ebibuga omutali kantu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga kino Mukama ky’agamba ku lubiri lwa kabaka wa Yuda nti, “Newaakubadde ng’oli nga Gireyaadi gye ndi, ng’entikko y’olusozi Lebanooni, ddala ddala nzija kukufuula ddungu, ng’ebibuga ebitaliimu bantu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama ebikwata ku by'ennyumba ya kabaka wa Yuda nti, “Ggwe olinga Gireyaadi gyendi, nga entikko ya Lebanooni, era naye sirirema kukufuula ddungu n'ekibuga omutali bantu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ku lwange, olubiri lwa kabaka wa Buyudaaya lulungi ng'ensi ya Gileyaadi, era ng'ensozi za Lebanooni. Naye ndirufuula ekifo ekyabuliddwa, ekitakyalimu bantu,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama eby'ennyumba ya kabaka wa Yuda: nti Ggwe Gireyaadi gye ndi era mutwe gwa Lebanooni: era naye sirirema kukufuula ddungu n'ebibuga omutali bantu.