Jeremiah 22:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ndikutegekera abantu okukuzikiriza, buli omu n'ebyokulwanyisa bye; balitema entolookyo zo ennungi ne bazisuula mu muliro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndikusindikira abakuzikiriza, buli musajja n’ebyokulwanyisa bye, era balitema emivule gyo egisinga obulungi ne bagisuula mu muliro.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ndikutegekera abazikiriza, buli muntu ng'alina eby'okulwanyisa bye; era balitema emivule gyo egisinga obulungi, ne bagisuula mu muliro.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
era ntegeka abaliruzikiriza. Bonna balireeta embazzi, ne batema empagi zaalwo ennungi eza keduro ne bazisuula mu muliro.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ndikutegekera abazikiriza, buli muntu ng'alina ebintu bye ebizikiriza: era balitema emivule gyo egisinga obulungi, ne bagisuula mu muliro.