Jeremiah 22:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Balibaddamu nti: ‘Kubanga baayabulira endagaano y'Omukama Katonda waabwe, ne bavunnamira balubaale, ne babaweereza.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era eky’okuddamu kibeere nti, ‘Kubanga beerabira endagaano ya Mukama Katonda waabwe ne basinza era ne baweereza bakatonda abalala.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne baddamu nti, “Kubanga baaleka endagaano ya Mukama Katonda waabwe, ne basinza bakatonda abalala ne babaweereza.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo baliddamu nti: ‘Kubanga baaleka endagaano gye baakola ne Katonda waabwe, ne basinza balubaale, era ne babaweereza.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne baddamu nti Kubanga baaleka endagaano ya Mukama Katonda waabwe, ne basinza bakatonda abalala ne babaweereza.