Jeremiah 23:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga ensi ejjudde abenzi; olw'okuvumirirwa, ensi ekungubaga; n'amalundiro mu malungu gakaze. Bakutte ekkubo ebbi, n'obuyinza bwabwe tebugoba bwenkanya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ensi ejjudde abenzi; olw’ekikolimo ensi esigadde nkalu era n’amalundiro g’omu ddungu meereere. Bannabbi bagoberera amakubo amabi era bakozesa obuyinza bwabwe mu butali bwenkanya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga ensi ejjudde abenzi; olw'ekikolimo kino ensi ekungubaga, era n'amalundiro ag'omu ddungu gakaze. Entambula yaabwe mbi, n'amaanyi gaabwe si malungi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ensi ejjudde abantu abatanywerera ku Mukama. Ba mpisa mbi mu bulamu bwabwe, bakozesa bubi obuyinza bwe balina. Ensi ekungubaga, n'amalundiro gakaze olw'okukolimirwa Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga ensi ejjudde abenzi; kubanga ensi ekungubaga olw'okulayira; amalundiro ag'omu ddungu gakaze; n'amagenda gaabwe mabi, n'amaanyi gaabwe si malungi.