Jeremiah 23:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“N'olw'ekyo ekkubo lyabwe liriseerera; bajja kugobebwa mu nzikiza, eyo gye baligwira. Ŋŋenda kubaleetera akabi mu mwaka mwe balibonerezebwa.” Omukama y'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Noolwekyo amakubo gaabwe gajja kuseerera era bajja kusuulibwa mu kizikiza era eyo gye baligwira. Ndibaleetako okuzikirira mu mwaka gwe balibonerezebwamu,” bw’ayogera Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'olwekyo amakubo gaabwe galiba gyebali ng'obukubo obw'obuseerezi mu kizikiza, omwo mwe balisindikibwa era mwebaligwira; kubanga ndibaleetako obubi mu mwaka mwe balibonererezebwa, bw'ayogera Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale amakubo ge bakwata galiba maseerevu, ga nzikiza. Balisindikibwa mu go ne bagwa. Ndibatuusaako akabi mu kiseera eky'okubonereza. Nze Mukama, Nze njogedde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Amakubo gaabwe kyegaliva gabeera gye bali ng'obuseerezi mu kizikiza: balisindikibwa ne bagwa omwo: kubanga ndibaleetako obubi, gwe mwaka mwe balibonerezebwa, bw'ayogera Mukama.