Jeremiah 23:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu balanzi ab'omu Yeruzaalemu nalabamu ekyesisiwaza: bakola obwenzi era batambulira mu bulimba. Bawagira abakola obubi, bwe kityo ne wataba n'omu ava mu nsobi ze. Bonna bandabikira nga Sodoma, abantu baamu, nga Gomorra.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era ne mu bannabbi ba Yerusaalemi ndabye ekintu ekibi ennyo. Bakola eby’obwenzi ne batambulira mu bulimba. Bagumya abo abakozi b’ebibi ne wataba n’omu ava mu kwonoona kwe. Bonna bali nga Sodomu gye ndi; abantu ba Yerusaalemi bali nga Ggomola.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ndabye ekigambo eky'ekivve ne ku bannabbi ab'e Yerusaalemi; benda era batambulira mu by'obulimba, ne bawagira abo abakola ebibi, ne wataba akyuka okuleka obubi bwe, bonna bafuuse gye ndi nga Sodomu, n'abali omwo nga abe Ggomola.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ndabye n'abalanzi ab'omu Yerusaalemu nga bakola eby'ekivve. Bakola eby'obwenzi, era balimba. Bawagira abantu abakola ebibi, ne wataba akyuka kulekayo bibi bye. Bonna ndaba nga babi ng'ab'e Sodoma ne Gomora.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ndabye ekigambo eky'ekivve ne ku bannabbi ab'e Yerusaalemi; benda era batambulira mu by'obulimba, ne banyweza emikono gy'abo abakola obubi, ne wataba akyuka okuleka obubi bwe: bonna bafuuse gye ndi nga Sodomu, n'abali omwo nga Ggomola.