Jeremiah 23:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'olw'ekyo, Omukama w'Amagye kino ky'agamba ku balanzi: “Nange abantu bano ŋŋenda kubaliisa omususa, mbanywese n'amazzi agalimu obutwa, kubanga mu balanzi ab'omu Yeruzaalemu, obugwenyufu mwe buvudde okusaasaanira ensi eno yonna.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo, bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye ebikwata ku bannabbi nti, “Nzija kubaliisa emmere ekaawa banywe amazzi ag’obutwa, kubanga okuva mu bannabbi ba Yerusaalemi, obutatya Katonda bubunye mu nsi yonna.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'olwekyo Mukama w'eggye kyava ayogera bw'ati ebikwata ku bannabbi nti, “Laba, ndibaliisa obusinso, era ndibanywesa amazzi ag'omususa, kubanga mu bannabbi ab'e Yerusaalemi obwonoonefu mwe buvudde okubuna ensi yonna.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kale Nze Mukama Nnannyinimagye, kiikino kye ŋŋamba ku balanzi b'omu Yerusaalemu: ndibaliisa ebimera ebikaawa, era ndibanywesa obutwa kubanga babunyisizza obwonoonefu mu ggwanga lyonna.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama w'eggye kyava ayogera bw'ati ebya bannabbi nti Laba, ndibaliisa obusinso, era ndibanywesa amazzi ag'omususa: kubanga mu bannabbi ab'e Yerusaalemi obwonoonefu mwe buvudde okubuna ensi yonna.