Jeremiah 23:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama w'Amagye kino ky'agamba: “Temuwuliriza bya balanzi bye balanga gye muli; babagumaaza bugumaaza. Boogera bye bafumbiridde mu mitima gyabwe, tebiva mu kamwa ka Mukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’eggye nti, “Temuwuliriza bannabbi bye babategeeza: babajjuza essuubi ekyamu. Boogera ebirooto ebiva mu mitima gyabwe, so si ebiva mu kamwa ka Mukama Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti, “Temuwulirizanga bigambo bya bannabbi ababagamba ebigambo; babayigiriza ebitaliiko kye bigasa, boogera okwolesebwa okuvudde mu mutima gwabwe bo, so tekuvudde mu kamwa ka Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Mukama Nnannyinimagye n'agamba ab'omu Yerusaalemu nti: “Temuwuliriza ebyo abalanzi bye babalagula, nga babasuubiza ebitajja kubagasa. Babategeeza ebyo bo bennyini bye balowoozezza, sso si ebyo Nze bye njogedde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Temuwuliranga bigambo bya bannabbi ababalagula; babayigiriza ebitaliiko kye bigasa: boogera okwolesebwa okuvudde mu mutima gwabwe bo, so okutavudde mu kamwa ka Mukama.