Jeremiah 23:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bagamba lunye abo abannyooma nti: ‘Omukama agambye nti: “Muliba n'emirembe.” ’ Na buli agoberera obukakanyavu bw'omutima gwe omubi bamugamba nti: ‘Tewali kabi kalikugwira.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bagamba abo abannyooma nti, ‘ Mukama Katonda agamba onoobeera n’emirembe.’ Abo abagoberera obukakanyavu bw’emitima gyabwe babagamba nti, ‘Tewali kabi kanaakujjira.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bagamba abo abannyooma olutata nti, Mukama ayogedde nti Muliba n'emirembe; era neri buli muntu atambulira mu bukakanyavu bw'omutima gwe bamugamba nti Tewaliba bubi obulibajjira.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu abanyooma bye njogedde, abalanzi abo babategeeza bulijjo nti: ‘Mujja kubeera bulungi.’ Era buli mukakanyavu wa mutima bamutegeeza nti tewali kabi kalimujjira.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bagamba olutata abo abannyooma nti Mukama ayogedde nti Muliba n'emirembe; na buli muntu atambulira mu bukakanyavu bw'omutima gwe ye bamugamba nti Tewaliba bubi obulibajjira.