Jeremiah 23:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye nno, ani ku abo eyali atudde mu lukiiko lw'Omukama n'alaba era n'awulira ekigambo kye? Ani yali ategerezza n'awulira ekigambo kye?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ani ku bo eyali abadde mu lukiiko lwa Mukama Katonda okulaba oba okuwulira ekigambo kye?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga ani ku bo eyali ayimiridde Mukama w'ateeseza ebigambo, ategeere era awulire ekigambo kye? Ani eyali yeetegerezza ekigambo kyange n'akiwulira?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Naye ani ku balanzi abo eyali amanye ebirowoozo bya Mukama? Tekuli yali awulidde bubaka bwe, wadde eyali awulirizza n'assaayo omwoyo ku ebyo Mukama by'agamba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga ani eyali ayimiridde Mukama w'ateeseza ebigambo, ategeere awulire ekigambo kye? ani eyali yeetegerezza ekigambo kyange n'akiwulira?