Jeremiah 23:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mwegendereze! Omuyaga gw'Omukama! Obusungu bwe busituse, kikuŋŋunta ow'akazimu ajja kwebongera ku mitwe gy'ababi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Laba, omuyaga gwa Mukama gujja kubwatuka n’ekiruyi, empewo ey’akazimu eyetooloolera ku mitwe gy’abakozi b’ebibi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laba, kibuyaga wa Mukama! Ekiruyi kye kifulumye, kibuyaga w'akazimu, akuntira ku mutwe gw'ababi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Obusungu bwa Mukama buli nga kibuyaga: ye mbuyaga ey'amaanyi, erikuntira ku mitwe gy'ababi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, kibuyaga wa Mukama, kye kiruyi kye, afulumye, weewaawo, kibuyaga w'akazimu: aligwa ku mutwe gw'ababi.