Jeremiah 23:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'olw'ekyo, Omukama, Katonda wa Yisirayeli, kino ky'agamba ku basumba abalunda eggana lyange: “Eggana lyange mulibunyizza emiwabo endiga ne muzigobera eyo, temufuddeeyo kuzirabirira. Nange nno nzija kubeekwatiramu olw'ebikolwa byammwe ebibi,” Omukama y'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo, bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri ebikwata ku basumba abalabirira abantu bange nti, “Kubanga musaasaanyizza abantu bange ne mubagoba ne mutabalabirira, nzija kubaleetako ebibonerezo olw’ebibi bye mukoze,” bw’ayogera Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'olwekyo bw'ati bw'ayogera Mukama, Katonda wa Isiraeri, ebikwata ku basumba abaliisa abantu bange nti, “Musaasaanyizza ekisibo kyange ne mubagoba, so temwabalambula; laba, ndireeta ku mmwe obubi obw'ebikolwa byammwe, bw'ayogera Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bino Mukama Katonda wa Yisirayeli, by'ayogera ku bakulembeze abalabirira abantu be, agamba nti: “Temwalabirira bantu bange. Mwabagoba ne mubasaasaanya. Kaakano ŋŋenda okubabonereza mmwe, olw'ekibi kye mwakola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama Katonda wa Isiraeri kyava ayogera bw'ati eri abasumba abaliisa abantu bange nti Musaasaanyizza ekisibo kyange ne mubagoba, so temwabalambula; laba, ndireeta ku mmwe obubi obw'ebikolwa byammwe, bw'ayogera Mukama.