Jeremiah 23:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obusungu bw'Omukama tebuddirire okutuusa ng'amalirizza, ng'atuukirizza omutima gwe bye gutegese. Gye bujja ky'aliko mulikitegeera bulungi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Obusungu bwa Mukama tebujja kukoma okutuusa ng’amaze okutuukiriza ekigendererwa ky’omutima gwe. Mu nnaku ezijja, mujja kukitegeera bulungi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Obusungu bwa Mukama tebulikka okutuusa lw'alimala okutuukiriza, n'okukomekkereza omutima gwe bye gumaliridde okukola, mu nnaku ez'oluvannyuma mulikitegeerera ddala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era obusungu bwe tebulikka nga tannatuukiriza ky'amaliridde okukola. Kino abantu be mu biseera ebijja balikitegeera bulungi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Obusungu bwa Mukama tebulidda okutuusa lw'alimala okutuukiriza, okutuusa lw'alikomekkereza omutima gwe bye gumaliridde: mu nnaku ez'oluvannyuma mulikitegeerera ddala.