Jeremiah 23:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Singa baaliko mu lukiiko lwange, bandirangiridde ebigambo byange eri abantu bange ne babaggya mu kkubo lyabwe ebbi ne mu bikolwa byabwe ebibi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye singa bayimirira mu maaso gange, bandibuulidde abantu bange ebigambo byange, era bandibaggye mu makubo gaabwe amabi era ne mu bikolwa byabwe ebibi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye singa baayimirira mu kuteesa kwange, kale bandirangiridde ebigambo byange eri abantu bange, era bandibakyusizza okuleka ekkubo lyabwe ebbi, n'ebikolwa byabwe ebibi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Singa baamanya ebirowoozo byange, kale bandituusizza obubaka bwange ku bantu bange, ne babakyusa okuva mu mpisa zaabwe embi, n'ebikolwa byabwe ebibi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye singa bayimirira mu kuteesa kwange, kale bandiwulizza abantu bange ebigambo byange, era bandibakyusizza okuleka ekkubo lyabwe ebbi n'obubi obw'ebikolwa byabwe.