Jeremiah 23:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Nawulira abalanzi bye balanga, abo abalanga eby'obulimba mu linnya lyange, nga bagamba mbu: ‘Naloose, naloose!’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Mpulidde bannabbi aboogera eby’obulimba mu linnya lyange. Bagamba nti, ‘Naloose! Naloose!’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mpulidde bannabbi bye boogedde, aboogera eby'obulimba mu linnya lyange, nga boogera nti, Ndoose, ndoose!
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mmanyi abalanzi abo bye boogedde, abalanga eby'obulimba, nga bakozesa erinnya lyange, nga bagamba nti: ‘Mukama yandoosezza, Mukama yandoosezza.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mpulidde bannabbi bye boogedde abayima mu linnya lyange okulagula eby'obulimba, nga boogera nti Ndoose, ndoose.