Jeremiah 23:26 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obulimba bunaatuusa wa obubeera mu mitima gy'abalanzi abalanga eby'obulimba, abalanga bye bamaze gafumbirira mu mitima gyabwe?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kino kinaakoma ddi mu mitima gy’abo bannabbi b’obulimba, abategeeza eby’obulimba ebiva ku mitima gyabwe?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bulituusa wa obulimba mu mitima gya bannabbi aboogera eby'obulimba; era aboogera ebikyamu bye bagunja mu mutima gwabwe bo?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abalanzi abo balituusa wa okukyamya abantu bange, nga babategeeza eby'obulimba bye beeyiiyiza?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ebyo birituusa wa okuba mu mutima gwa bannabbi abalagula eby'obulimba; bannabbi ab'obukyamu obw'omu mutima gwabwe bo?