Jeremiah 23:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Balowooza nti ebirooto bye banyumizagana bineerabiza abantu erinnya lyange, nga bajjajjaabwe bwe beerabira erinnya lyange olwa Baali.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Balowooza nti ebirooto bye balootolola bannaabwe bijja kuleetera abantu bange okwerabira erinnya lyange, nga bakitaabwe bwe beerabira erinnya lyange nga basinza Baali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era balowooza okwerabiza abantu bange erinnya lyange olw'ebirooto byabwe, buli muntu byabuulira munne, nga bajjajjaabwe bwe beerabira erinnya lyange olwa Baali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Balowooza nti ebirooto byabwe bye banyumya, binaaleetera abantu okunneerabira, badde eri Baali.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abalowooza okwerabiza abantu bange erinnya lyange olw'ebirooto byabwe bye babuulirana buli muntu munne, nga bajjajjaabwe bwe beerabira erinnya lyange olwa Baali.