Jeremiah 23:28 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omulanzi alina ekirooto anyumye ekirooto kye, naye oyo alina ekigambo kyange ayogere ekigambo kyange mu mazima. Abaffe, ebisusunku bifaanana ng'eŋŋano, Omukama y'agamba,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nnabbi alina ekirooto ayogere ekirooto kye, n’oyo alina ekigambo kyange akyogere mu bwesigwa. Kubanga ebisusunku birina nkolagana ki n’eŋŋaano?” bw’ayogera Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nnabbi aloota ekirooto alootoolorenga ekirooto, n'oyo afunye ekigambo kyange akyogerenga n'obwesigwa. Ebisusunku birina kye bifaananya n'eŋŋaano?” Bw'ayogera Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omulanzi aloose ekirooto, ayogerenga nti kirooto bulooto. N'oyo afunye obubaka, abulangirirenga n'obwesigwa. Ebisusunku biba birungi ng'eŋŋaano?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nnabbi aloota ekirooto abuulirenga ekirooto, n'oyo alina ekigambo kyange ayogerenga ekigambo kyange n'obwesigwa. Ebisusunku kiki okwenkana n'eŋŋaano? bw'ayogera Mukama.