Jeremiah 23:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Nze kennyini nzija kwekuŋŋaanyiza zikaawonawo mu ndiga zange, nziggye eyo yonna mu nsi, gye nazigobera, nzizze mu malundiro gaazo; zirizaala ne zaala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Nze kennyini nzija kukuŋŋaanya abaasigalawo ku kisibo kyange okuva mu mawanga gonna gye nabagobera, mbakomyewo mu kisibo kyabwe, gye banaabalira ebibala beeyongere obungi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ndikuŋŋaanya abafisseewo ku kisibo kyange okubaggya mu nsi zonna gye nnabagobera, ne mbakomyawo mu bisibo byabwe; era balyala ne beeyongera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndikuŋŋaanya abantu bange abasigaddewo okubaggya mu nsi zonna gye nabasaasaanyiza, mbakomyewo mu nsi yaabwe. Balizaala nnyo ne baala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ndikuŋŋaanya abafisseewo ku kisibo kyange okubaggya mu nsi zonna gye nnabagobera, ne mbakomyawo mu bisibo byabwe; era balyala balyeyongera.