Jeremiah 23:30 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Awo nno, nnwanyisa abalanzi,” Omukama y'agamba, “ababbaŋŋana ebigambo byange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Noolwekyo, ndi mulabe wa bannabbi ababbiŋŋanako ebigambo ebiva gye ndi,” bw’ayogera Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Kale, laba, ndi mulabe wa bannabbi, bw'ayogera Mukama, ababba ebigambo byange buli muntu ku munne.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nkyawa abalanzi abo abaddira ebigambo bya bannaabwe, ne babirangirira ng'obubaka bwange.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale, laba, ndi mulabe wa bannabbi, bw'ayogera Mukama, ababba ebigambo byange buli muntu ku munne.