Jeremiah 23:31 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era nnwanyisa abalanzi,” Omukama y'agamba, “abatolobya ennimi zaabwe ne bagenda nga balangirira mbu: ‘Omukama agambye.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Weewaawo,” bw’ayogera Mukama, “saagalira ddala bannabbi abayogerayogera nga bagamba nti, ‘Bw’atyo Mukama bw’agamba.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laba, ndi mulabe wa bannabbi, bw'ayogera Mukama, abaddira ennimi zaabwe ne boogera nti, Mukama ayogera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era nkyawa n'abalanzi bange abo, abaddira ebigambo ebyabwe ku bwabwe, ne bagamba nti Nze mbyogedde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, ndi mulabe wa bannabbi, bw'ayogera Mukama, abaddira ennimi zaabwe ne boogera nti Ayogera.