Jeremiah 23:32 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nnwanyisa abalanzi abalanga ebirooto eby'obulimba;” Omukama y'agamba, “babinyumya ne bawubisa abantu bange n'obulimba bwabwe nga bwe beetenda nnyini. Sibatumanga yadde okubalonda; sibalina na kye baali bagasizzaamu bantu bano n'akatono,” Omukama bw'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ddala ddala ndi mulabe w’abo abawa obunnabbi bw’ebirooto ebikyamu. Babyogera ne babuza abantu bange n’obulimba bwabwe obutaliimu, ate nga saabatuma wadde okubateekawo. Tebalina kye bayamba bantu bano n’akatono,” bw’ayogera Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laba, ndi mulabe w'abo aboogera ebirooto eby'obulimba bwabwe n'olw'okwenyumiriza kwabwe okutaliimu, naye nga saabatuma so saabalagira; era tebaligasa bantu bano n'akatono, bw'ayogera Mukama.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Muwulire Nze Mukama kye ŋŋamba: nkyawa abalanzi aboogera ebirooto byabwe eby'obulimba, ne bakyamya abantu bange olw'obulimba bwabwe obwo, n'okwenyumiriza mu bitaliimu. Sibatumanga, era sibalagiranga. Era tebalina kye bagasa mu bantu bange. Nze Mukama, Nze njogedde.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, ndi mulabe w'abo abalagula ebirooto eby'obulimba bwabwe n'olw'okwenyumiriza kwabwe okutaliimu: naye saabatuma so saabalagira; so tebaligasa bantu bano n'akatono, bw'ayogera Mukama.