Jeremiah 23:33 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Abantu bano, oba omulanzi, oba kabona, singa bakubuuza nti: ‘Omugugu gw'Omukama guluwa?’ ggwe obaddangamu nti: ‘Mmwe mugugu era nzija kubeetikkula, Omukama y'agamba.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Abantu bano, oba nnabbi oba kabona bw’abuuza nti, ‘Bubaka ki Mukama bw’atutumye?’ Bagambe nti, ‘Bubaka ki? Nzija kubabuulira, bw’ayogera Mukama.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Singa omu ku bantu bano, oba nnabbi, oba kabona bwe balikubuuza nga boogera nti,‘ Omugugu gwa Mukama kye ki?’ Kale n'obagamba nti, ‘Ggwe mugugu eri Mukama era agenda kukusuula eri!’ bw'ayogera Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Mukama n'aŋŋamba nti: “Yeremiya, omu ku bantu bange, oba omulanzi, oba kabona, bw'akubuuza nti: ‘Obubaka bwa Mukama bwe buluwa?’ Ggwe muddemu nti: ‘Oli mugugu eri Mukama, era agenda kukusuula eri.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abantu bano oba nnabbi bwe balikubuuza nga boogera nti Omugugu gwa Mukama kye ki? kale n'obagamba nti Mugugu ki! Ndibagoba, bw'ayogera Mukama.