Jeremiah 23:34 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Singa omulanzi, oba kabona, oba omuntu omulala yenna alyogera nti: ‘Mugugu gwa Mukama’, ŋŋenda kubonereza omuntu oyo n'ennyumba ye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nnabbi, oba kabona oba omuntu yenna bw’agamba nti, ‘Buno bwe bubaka bwa Mukama,’ Nzija kubonereza omusajja oyo n’ab’omu maka ge.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ku bannabbi, oba kabona, oba omuntu omulala yenna alyogera nti, ‘Omugugu gwa Mukama,’ ndibonereza omuntu oyo n'ennyumba ye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Singa omulanzi oba kabona oba omulala yenna alikozesa ebigambo: ‘Omugugu gwa Mukama,’ ndimubonereza ye n'ab'ennyumba ye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne nnabbi ne kabona n'abantu abalyogera nti Omugugu gwa Mukama, ndibonereza omuntu oyo n'ennyumba ye.