Jeremiah 23:35 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kino nno kye muba mugambagana, buli omu agambe munne oba muganda we nti: ‘Omukama azzeemu ki?’ oba nti: ‘Omukama ayogedde ki?’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kino buli omu ky’anagamba mikwano gye oba ab’eŋŋanda ze. ‘ Mukama, azeemu ki? Oba kiki Mukama ky’ayogedde?’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe muti bwe muligamba buli muntu munne, na buli muntu muganda we nti, ‘Mukama azzeemu ki?’ Era nti, ‘Mukama ayogedde ki?’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Wabula buli omu abuuzenga mikwano gye n'ab'eŋŋanda ze nti: ‘Mukama azzeemu ki? Mukama agambye ki?’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe muti bwe muligamba buli muntu munne na buli muntu muganda we nti Mukama azzeemu ki? era nti Mukama ayogedde ki?