Jeremiah 23:36 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye ekya ‘Mugugu gwa Mukama’ temukijjukizanga nate, kubanga buli kigambo oli ky'ayogera gwe guliba omugugu gwe. Bwe mutyo bwe mukyusakyusa ebigambo bya Katonda omulamu, Omukama w'Amagye, Katonda waffe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye temuddayo kugamba nti, ‘Buno bwe bubaka bwa Mukama,’ kubanga buli kigambo kya muntu kifuuka bubaka bwe era mukyusa ebigambo bya Katonda omulamu, Mukama ow’Eggye, Katonda waffe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ‘Omugugu gwa Mukama,’ temuddangayo okugwogerako nate, kubanga buli muntu ekigambo kye ye kye kiriba omugugu gwe; kubanga mwannyoola ebigambo bya Katonda omulamu, ebya Mukama w'eggye, era Katonda waffe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tebakozesanga nate bigambo bino nti: ‘Omugugu gwa Mukama,’ kubanga oyo alibikozesa, obubaka bwange bulimufuukira omugugu. Abantu bakyamya ebigambo bya Katonda Nnannyinibulamu, Mukama Nnannyinimagye, Katonda waabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'omugugu gwa Mukama temukyagwatula nate: kubanga buli muntu ekigambo kye ye kye kiriba omugugu gwe; kubanga mwanyoola ebigambo bya Katonda omulamu, ebya Mukama w'eggye Katonda waffe.