Jeremiah 23:37 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bw'oti nno bw'onoogamba omulanzi nti: ‘Omukama akuzzeemu ki?’ oba nti: ‘Omukama ayogedde ki?’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kino kye munaabuuza nnabbi nti, ‘Kiki Mukama kyakuzzeemu?’ Oba nti, ‘ Mukama, agambye ki?’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'oti bw'oba ogamba nnabbi nti, ‘Mukama akuzzeemu ki?’ Era nti, ‘Mukama ayogedde ki?’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ggwe Yeremiya, buuza abalanzi nti: ‘Mukama akuzzeemu ki? Mukama agambye ki?’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'oti bw'oba ogamba nnabbi nti Mukama akuzzeemu ki? era nti Mukama ayogedde ki?