Jeremiah 23:38 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga mugamba nti ‘Mugugu gwa Mukama’, Omukama kino nno ky'agamba: kubanga mukozesezza enjogera nti: ‘Mugugu gwa Mukama’, sso nga nabalabula nti temuddayo ne mwogera nti: ‘Mugugu gwa Mukama’,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye era mujja kugamba nti, ‘Buno bwe bubaka Mukama bwatutumye,’ wadde nga nabagamba nti, Temusaanye kwogera nti, ‘Buno bwe bubaka bwa Mukama,’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye bwe mulyogera nti, ‘Omugugu gwa Mukama;’ Mukama kyava ayogera bw'ati nti, Kubanga mwogera ekigambo ekyo nti, ‘Omugugu gwa Mukama,’ nange mbatumidde nga njogera nti, ‘Temwogeranga nti Omugugu gwa Mukama;’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye bwe bajeemera ekiragiro kyange, ne bakozesa ebigambo: ‘Omugugu gwa Mukama,’ bategeeze nti
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye bwe mulyogera nti Omugugu gwa Mukama; Mukama kyava ayogera bw'ati nti Kubanga mwogera ekigambo ekyo, nti Omugugu gwa Mukama, nange mbatumidde nga njogera nti Temwogeranga nti Omugugu gwa Mukama;