Jeremiah 23:39 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
nzija kubasitula, mbakanyuge eri okuva mu maaso gange, wamu n'ekibuga kye nali mpadde mmwe ne bajjajjammwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
kyenaava mbagobera ddala mu maaso gange ne mu kibuga ekyo kye nabawa, mmwe ne bakitammwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'olwekyo, laba, ndibasitula era n'embasulira ddala okuva mu maaso gange, mmwe era n'ekibuga kye nnabawa mmwe ne bajjajjammwe,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
nja kubasitula mbakanyuge wala, bo bennyini n'ekibuga kyabwe kye nabawa, ne bajjajjaabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kale, laba, ndibeerabirira ddala, era ndibasuula n'ekibuga kye nnabawa mmwe ne bajjajjammwe okuviira ddala we ndi: