Jeremiah 23:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ndizissaako abasumba ne bazirunda; teziriddamu kutya na kutekemuka; tekulibulako n'emu,” Omukama y'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndibawa abasumba abanaabalabirira, era tebaliddayo kutya oba kuggwaamu maanyi, era tewaabe n’omu abula,” bw’ayogera Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ndissaawo abasumba ku bo abalibaliisa, kale nga tebakyabatya nate so tebalikeŋŋentererwa, so tewaliba n'omu alibula,” bw'ayogera Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndissaawo abakulembeze okubalabiriranga, balemenga kutya na kweraliikirira, era waleme kubaawo n'omu abula. Nze Mukama, Nze njogedde.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ndissaawo abasumba ku bo abalibaliisa: kale nga tebakyatya nate so tebalikeŋŋentererwa, so tewaliba balibula, bw'ayogera Mukama.