Jeremiah 23:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu bbanga lye Yuda alirokolebwa, ne Yisirayeli alituula ntende. Lino lye linnya lye balimuyita: 'Mukama bwe Butuukirivu bwaffe'.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu mirembe gye, Yuda alirokolebwa ne Isirayiri alibeera mu mirembe. Lino lye linnya lye balimuyita: Mukama OBUTUUKIRIVU BWAFFE.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu mirembe gye Yuda alirokoka ne Isiraeri alibeera mu mirembe. Era lino lye linnya lye ly'alituumibwa nti Mukama bwe butuukirivu bwaffe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu mirembe gye, abantu b'omu Buyudaaya balibeera bulungi, n'abantu b'omu Yisirayeli balibeera mirembe. Erinnya lye aliyitibwa ‘Mukama, Omulokozi atuwa obutuukirivu.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu mirembe gye Yuda alirokoka ne Isiraeri alibeera mirembe: era lino lye linnya ye ly'alituumibwa nti Mukama bwe butuukirivu bwaffe.