Jeremiah 23:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo nno ennaku zijja,” Omukama y'agamba, “abantu nga tebakyagamba nti: ‘Mazima Omukama nga mulamu, eyaggya abantu ba Yisirayeli mu nsi y'e Misiri,’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Noolwekyo ennaku zijja, abantu lwe batalyogera nate nti, ‘Ddala nga Mukama bwali omulamu eyaggya Abayisirayiri mu Misiri,’ bwayogera Mukama,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“N'olwekyo laba, ennaku zijja, bw'ayogera Mukama, nga abasajja tebakyayogera nate nti, Nga Mukama bw'ali omulamu eyaggya abaana ba Isiraeri mu nsi y'e Misiri;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti: “Ekiseera kirituuka, abantu nga tebakyandayira nti: ‘Nga Mukama bw'ali omulamu eyaggya Abayisirayeli mu nsi y'e Misiri.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, nnaku kyeziva zijja, bw'ayogera Mukama, lwe batakyayogera nate nti Nga Mukama bw'ali omulamu eyaggya abaana ba Isiraeri mu nsi y'e Misiri;