Jeremiah 23:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
wazira nti ‘Mazima Omukama nga mulamu, eyaggya Abayisirayeli mu nsi y'emambuka, ne mu nsi zonna gye yali abagobedde.’ Olwo balibeera mu nsi yaabwe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
naye bagambe nti, ‘Ddala nga Mukama bw’ali omulamu, eyaggya abaana ba Isirayiri mu nsi ey’omu bukiikakkono era ne mu nsi zonna gye yali abagobedde.’ Olwo balibeera mu nsi yaabwe ku bwabwe,” bw’ayogera Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye nti Nga Mukama bw'ali omulamu eyaggya ezzadde ery'ennyumba ya Isiraeri mu nsi ey'obukiikakkono ne mu nsi zonna gye yabagobera n'abalinnyisa n'abatwala; era balibeera mu nsi yaabwe bo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye banandayiranga nti: ‘Nga Mukama bw'ali omulamu, eyaggya Abayisirayeli mu nsi ez'omu bukiikakkono, ne mu nsi zonna gye yabasaasaanyiza.’ Era balibeera mu nsi eyaabwe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye nti Nga Mukama bw'ali omulamu eyaggya ezzadde ery'ennyumba ya Isiraeri mu nsi ey'obukiika obwa kkono ne mu nsi zonna gye nnabagobera n'abalinnyisa n'abatwala; era balibeera mu nsi yaabwe bo.