Jeremiah 24:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oluvannyuma nga Nebukadurezzari kabaka w'e Babiloni amaze okuggya mu Yeruzaalemu Yekoniya, mutabani wa Yoyakimu kabaka wa Yuda n'amutwala mu buwaŋŋanguse e Babiloni, wamu n'abakungu, abafundi n'abaweesi ba Yuda, Omukama yanjoleka ebisero bibiri ebijjudde entontogolo z'emikunyu nga bitegekeddwa mu maaso g'Ekiggwa ky'Omukama,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yekoyakini mutabani wa Yekoyakimu kabaka wa Yuda n’abakungu, n’abaweesi n’abafundi ba Yuda bwe baatwalibwa kabaka Nebukadduneeza mu buwaŋŋanguse mu Babulooni okuva mu Yerusaalemi, Mukama yandaga ebibbo bibiri eby’emitiini nga biteekeddwa mu maaso ga yeekaalu ya Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oluvannyuma lwa Nebukadduneeza kabaka we Babbulooni okutwala mu buwaŋŋanguse okuva e Yerusaalemi Yekoniya mutabani wa Yekoyakimu kabaka wa Yuda, n'abakungu ba Yuda wamu ne bafundi n'abaweesi, era ng'abatutte e Babbulooni, awo Mukama nanjolesa, era, laba, ebibbo bibiri eby'ettiini nga biteekeddwa mu maaso ga Yeekaalu ya Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Mukama n'andaga ebisero bibiri eby'emitiini, nga biteekeddwa mu maaso g'Essinzizo. Ekyo kyaliwo nga Nebukadunezzari kabaka wa Babilooni amaze okuggya mu Yerusaalemu Kabaka Yekoniya, mutabani wa Yehoyakiimu, n'amutwala mu buwaŋŋanguse, awamu n'abakulembeze ba Buyudaaya, n'abakungu, era n'abamanyirivu mu mirimu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama yanjolesa, era, laba, ebibbo bibiri eby'ettiini ebiteekeddwa mu maaso ga yeekaalu ya Mukama; Nebukadduleeza kabaka w’e Babulooni ng'amaze okutwala nga musibe Yekoniya mutabani wa Yekoyakimu kabaka wa Yuda n'abakungu ba Yuda wamu ne bafundi n'abaweesi okubaggya mu Yerusaalemi, era ng'abatutte e Babulooni.