Jeremiah 24:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ndibasindikira ekitala n'enjala ne kawumpuli, okutuusa nga basaanyiziddwaawo ddala okuva mu nsi gye nali mbawadde, bo ne bajjajjaabwe.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndireeta ekitala, n’ekyeya, ne kawumpuli okubalumba okutuusa lwe balizikirira babule ku nsi gye nabawa ne bakitaabwe.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ndisindika entalo, n'enjala ne kawumpuli mu bo okutuusa lwe balimalibwawo okuva ku nsi gye nnabawa bo ne bajjajjaabwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndisindika mu bo olutalo n'enjala n'endwadde, okutuusa lwe baliggwaawo mu nsi gye nabawa bo ne bajjajjaabwe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ndiweereza ekitala n'enjala ne kawumpuli mu bo okutuusa lwe balimalibwawo okuva ku nsi gye nnawa bo ne bajjajjaabwe.