Jeremiah 24:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'aŋŋamba nti: “Olaba ki, Yeremiya?” Ne nziramu nti: “Ntontogolo; ennungi nnungi nnyo; embi mbi nnyo tezisobola na kuliika.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama n’ambuuza nti, “Olaba ki Yeremiya?” Ne muddamu nti, “Ndaba ettiini. Ennungi nga nnungi nnyo naye embi nga mbi nnyo ezitayinza kuliika.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Mukama n'aŋŋamba nti, “Yeremiya olaba ki?” Ne njogera nti, “Ttiini; ettiini ennungi, nnungi nnyo; n'embi, mbi nnyo ezitayinza na kuliika, olw'obubi bwazo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Mukama n'aŋŋamba nti: “Yeremiya, olaba ki?” Ne nziramu nti: “Ndaba emitiini emirungi ennyo, ate n'emibi ennyo egitayinza kuliika.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Mukama n'aŋŋamba nti Olaba ki, Yeremiya? Ne njogera nti Ttiini; ettiini ennungi nnungi nnyo; n'embi mbi nnyo ezitaliika, kubanga ziyinga obubi.