Jeremiah 24:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Omukama Katonda wa Yisirayeli kino ky'agamba: ‘Ng'entontogolo zino ennungi bwe ziri, bwe ntyo bwe ndaba obulungi bw'abasibe ba Yuda be naggya kuno ne mbatwala mu nsi y'Abakaludeya,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Ng’ettiini zino ennungi, ndaba nti abawaŋŋanguse b’omu Yuda balungi, be natwala okuva mu kifo kino eri mu nsi ey’Abakaludaaya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri nti, Ng'ettiini zino ennungi, bwe ziri bwe ntyo bwe nditwala nga balungi abo abawaŋŋangusiddwa okuva mu Yuda, be nnasindiikiriza okuva mu kifo kino okugenda mu nsi ey'Abakaludaaya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Nze Mukama, Katonda wa Yisirayeli, ndaba ng'abantu be nasindiikiriza okuva mu Buyudaaya, ne batwalibwa mu nsi y'Abakaludaaya, bali ng'emitiini emirungi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri nti Ng'ettiini zino ennungi, bwe ntyo bwe ndirowooza abasibe ba Yuda, be nnasindiikiriza okuva mu kifo kino okugenda mu nsi ey'Abakaludaaya, olw'obulungi.