Jeremiah 24:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ndibawa omutima bantegeere nti nze Mukama. Balibeera bantu bange, nange ndibeera Katonda waabwe, kubanga balidda gye ndi n'omutima gwabwe gwonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndibawa omutima bammanye, nti nze Mukama. Balibeera bantu bange, nange ndibeera Katonda waabwe, kubanga balidda gye ndi n’omutima gwabwe gwonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ndibawa omutima ogw'okummanya nga ndi Mukama; era banaabanga bantu bange, nange n'abanga Katonda waabwe, kubanga balikomawo gye ndi n'omutima gwabwe gwonna.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndibaagazisa okumanya nga Nze Mukama. Banaabanga bantu bange, ne mba Katonda waabwe, kubanga balidda gye ndi n'omutima gwabwe gwonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ndibawa omutima okummanya nga ndi Mukama: era banaabanga bantu bange, nange naabanga Katonda waabwe: kubanga balikomawo gye ndi n'omutima gwabwe gwonna.