Jeremiah 24:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Naye ng'entontogolo embi bwe ziba, embi ennyo ezitasobola na kuliika,’ Omukama y'agamba, ‘nange bwe ntyo bwe ndikola Zedekiya kabaka wa Yuda, abakungu be, n'abalala ab'omu Yeruzaalemu, babe nga baasigala mu nsi muno oba nga bali mu Misiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Naye ng’ettiini embi, embi ennyo ezitayinzika kuliika, bwe ntyo bwe nnaakola Zeddekiya kabaka wa Yuda, n’abakungu be n’abo abaasigalawo mu Yerusaalemi, oba abaasigalawo mu nsi eno oba abo ababeera mu Misiri,’ bw’ayogera Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Naye bw'ati bw'ayogera Mukama nti, era ng'ettiini embi ezitayinza na kuliika, olw'obubi bwazo; bwe ntyo bwe ndikola Zeddekiya kabaka wa Yuda n'abakungu be n'abafikkawo ku Yerusaalemi abaasigala mu nsi eno n'abo abali mu nsi y'e Misiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Naye Kabaka Zeddeekiya owa Buyudaaya n'abakungu be, n'abantu b'omu Yerusaalemu, abaasigala mu nsi eno, oba abaddukira mu nsi y'e Misiri, Nze Mukama, bonna ndibayisa ng'emitiini gino emibi egitayinza kuliika.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ng'ettiini embi ezitaliika, kubanga ziyinga obubi; mazima bw'ati bw'ayogera Mukama nti Bwe ntyo bwe ndigabula Zeddekiya kabaka wa Yuda n'abakungu be n'abafikkawo ku Yerusaalemi abaasigala mu nsi eno n'abo abali mu nsi y'e Misiri: