Jeremiah 24:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ndibafuula ekyesisiwaza, ekibi mu bwakabaka bwonna mu nsi, ekivumo, eky'okwogerako, eky'okusekerera n'ekikolimo yonna gye ndibagobera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
‘Ndibafuula kyennyinnyalwa era eky’omuzizo eri amawanga g’ensi, eky’okusekererwa era olugero obugero, ekintu eky’okusekererwa era eky’okukolimirwanga yonna gye nnaabagoberanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ndibafuula eky'entiisa eri obwakabaka bwonna mu nsi, baliba ekivume n'olugero, n'ekikiino n'ekikolimo mu bifo byonna gye ndibagobera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndibatuusaako akabi, amawanga gonna ku nsi galyoke gatye. Abantu balibavuma, ne babayisizaako engero, ne babasekerera, era ne bakozesanga erinnya lyabwe nga bakolima, buli gye ndibasaasaanyiza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ndibagabula okuyuguumizibwa eruuyi n'eruuyi mu nsi zonna eza bakabaka bwe zenkana olw'obubi; okuba ekivume n'olugero n'ekikiino n'ekikolimo mu bifo byonna gye ndibagobera.