Jeremiah 25:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekigambo kyajja eri Yeremiya ku bantu bonna aba Yuda, mu mwaka ogwokuna ogwa Yoyakimu mutabani wa Yosiya, kabaka wa Yuda, gwe mwaka omubereberye ogwa Nebukadurezzari, kabaka w'e Babiloni.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekigambo ekikwata ku bantu bonna aba Yuda ne kijjira Yeremiya mu mwaka ogwokuna ogw’obufuzi bwa Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda, ogwali omwaka ogusooka ogw’obufuzi bwa kabaka Nebukadduneeza mu bwakabaka bwa Babulooni.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekigambo ekyajja eri Yeremiya ekikwata ku bantu bonna aba Yuda, mu mwaka ogwokuna ogwa Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda; ogwo gwe gwali omwaka ogwolubereberye ogwa Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu mwaka ogwokuna nga Yehoyakiimu mutabani wa Yosiya ye kabaka wa Buyudaaya, ne nfuna obubaka bwa Mukama obufa ku bantu b'omu Buyudaaya. Ogwo gwe gwali omwaka ogusooka, nga Nebukadunezzari ye kabaka wa Babilooni.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ekigambo ekyajjira Yeremiya eky'abantu bonna aba Yuda mu mwaka ogw'okuna ogwa Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda; ogwo gwe gwali omwaka ogw'olubereberye ogwa Nebukadduleeza kabaka w'e Babulooni;