Jeremiah 25:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ensi eno yonna eribeera ddungu, matongo masa; amawanga gano gonna galiweereza kabaka w'e Babiloni ebbanga lya myaka nsanvu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ensi eno yonna ejja kufuuka matongo, n’amawanga gano gajja kuweereza kabaka w’e Babulooni emyaka nsanvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ensi eno yonna eriba matongo era nga tegasa; n'amawanga gano galiweereza kabaka w'e Babbulooni okumala emyaka nsanvu (70).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ensi eno yonna eriba matongo ag'entiisa, era amawanga agaliraanyeewo galiweereza kabaka wa Babilooni okumala emyaka nsanvu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ensi eno yonna eriba matongo n'ekyewuunyo; n'amawanga gano galiweerereza kabaka w'e Sabulooni emyaka nsanvu.