Jeremiah 25:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Emyaka ensanvu bwe giriyita, ndibonereza kabaka w'e Babiloni n'eggwanga eryo olw'okubeera obugwenyufu bwabwe,’ Omukama y'agamba, ‘era n'ensi y'Abakaludeya; ensi ndigifuula matongo ag'emirembe gyonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Naye emyaka ensanvu bwe giriggwako, ndibonereza kabaka w’e Babulooni n’eggwanga lye, ensi ya Babulooni olw’ekibi kyabwe, ngifuule matongo emirembe gyonna,” bw’ayogera Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olulituuka emyaka ensanvu (70) bwe giriggwako, ne ndyoka mbonereza kabaka w'e Babbulooni n'eggwanga eryo, ensi y'Abakaludaaya olw'obubi bwabwe bw'ayogera Mukama, era ndifuula ensi etegasa ennaku zonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Emyaka ensanvu bwe giriyitawo, ne mbonereza kabaka wa Babilooni n'ab'omu ggwanga eryo, olw'ebibi byabwe. Ndizikiriza eggwanga eryo, ne ndifuula amatongo ennaku zonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olulituuka emyaka ensanvu bwe girituukirira, ne ndyoka mbonereza kabaka w'e Babulooni n'eggwanga eryo, bw'ayogera Mukama, olw'obutali butuukirivu bwabwe, n'ensi ey'Abakaludaaya, era ndigifuula amatongo ennaku zonna.